SSEBO HONORABLE

By Nsubuga Muhammed.

Ssebo honorable,
Abatuuze bantumye.
Batuusa okusiima kwabwe.
Bagamba webale.
Omukama akuddizewo.
Ensonga obadde ozikutte kannabwala.
Ekiri ebule n’ebweya kiwawaza amatu.
Basaba kireme kutuuka wano.
Basaba tulemu kufa nga buwuka.

Mu ngeri y’emu bantumye.
Ekilwadde nga tekinaba kubanoga,
Enjala ya kubamalawo.
Emimmonde mu ttaka tegyabala,
Ebikata byakuza mitwe nga mmale.
Muwogo obuwuka bwamulya,
Ebikoola n’embuzi tezisobola kubigaya.
Emmwanyi twalitunze naye emiti mikalu.
Omuwemba n’obulo obunyonyi bwa bimalako.
Omuceere entobazi bazizimbamu amakolero,
Ku lukalu tegwadda bulungi.
Omunaku kaama naye ne kaama takyalanda.
Alandire wa omusana omwelere?

Ssebo honorable,
Amatooke abanyaguluzi baganogera ku mugogo,
batulekera bikolokomba.
Obukoko,
Obubuzi,
Obuliga,
Byonna batwala nga abawangudde akalulu.
Tetusobola kufuluma kutaasa.
Abakuuma ddembe
omuggo bakuba gwa katale.
Ettaka kkalu telikyabaza mmere.
Obujanjalo tusimba bufu.
Ebinyebwa twabivako.
Emimmonde tulilrako ssunsa na ttimpa.

Ssebo honorable,
Twawulira ku mmere egabwa.
Ewaffe tesange malalo?
Okunaaba engalo zzo tunaaba,
Naye eky’okulya tewali.
Abakyala bazinaba
kuzisonseka baana mu kamwa.
Amata mu mabere gaggwamu,
Ag’ente nago tegakyesigika.
Atuma omukulu tamagamaga,
Naye nange nzikiriza ntume.

Leave a Reply

Fill in your details below or click an icon to log in:

WordPress.com Logo

You are commenting using your WordPress.com account. Log Out /  Change )

Twitter picture

You are commenting using your Twitter account. Log Out /  Change )

Facebook photo

You are commenting using your Facebook account. Log Out /  Change )

Connecting to %s